Okwanukula eri obubaka obw’obukyaayi Mwami Mirundi bwazze nga ayisa mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo.

Munnange, ntambuza obubaka buno nga nnyanukula okujoogebwa okuzzenga
kutambulira ku mikutu emigattabantu egimu ne Radio za FM ezimu n’abaweereza muzo
abamu ne bakuwa omwagaanya okugenda ewala. Radio ezimu ku zino nsobola okumenya
Impact ne Pearl Fm n’emikutu gya YouTube egitalina miramwa. Newankubadde
ng’asobola okwemulugunya eri omukutu gwa YouTube ogw’abazungu ogutalina
kalungi konna ke gutwagaliza ng’oggyeeko okwagala okulya obwongo bw’abavubuka
abasinga, ndaba nga kikola amakulu ne nneeyogerera eri bannayuganda bannange
ne bannyinaze ssaako baganda bange ab’oku Ssemazinga ono be nkola nabo ng’era
nabo okulimbibwalimbibwa kuno bazzenga bakuwulira bambi ne bagenda mu maaso
n’okumpeereza obubaka wakati mu bweraliikirivu eri obulabe obuyinza okuntuukako
olw’amaloboozi gano amagingirire nze ng’omuntu, ab’enganda zange n’emirimu gyange.
Nsaba nneeyambise omukisa guno, nneerwaneko mu bulungi sso ssi ng’abamu bwe
babadde bangamba, wabula nsomese era nfune engeri esaanidde gyennyinza okuyitamu
nneme kuddamu nate kulabwa bubi bantu abo abansiiga enziro eno. Ekisinga obukulu
njagala mpulirwe mmwe abawuliriza mbakakase nti amaloboozi gano amagingirire
agansibwako n’obubaka obw’ekigwenyufu bwegafulumya bulimba bwennyini era
ssetaani omusa.

Ekigambo ‘Mulungamya’ mu Lungereza kigeraageranyizibwa n’omulimu ogukolebwa
Transformer y’amasannyalaze, mu kugera amasannyalaze ag’ekigero agaba geetaagisa.
Omulimu gwayo kussa wansi masannyalaze agabeera gaze mu bungi n’egassa ku bipimo
ebibeera byetaagisibwa omulimu gwe gabeera gateekeddwa okukola. Ekyo bwekiba
kitegeereddwa bulungi, kiyamba nnyo mmwe abalungamya ba program n’abaleesi
b’amawulire okutegeera obulungi omulimu gwammwe mu by’empuliziganya. Kino
era kiyambako okubalaga gyemukomye n’okuvvoola amateeka g’omulimu gwammwe
n’empisa z’abalungamya ba program okwo ssaako engeri gyemusudde wali ebintu
ebyalibaddenga bisoosowazibwa mu kuleetanga n’okukungaanya amawulire omuli
amazima n’embeera eri abawuliriza bammwe mu programe zammwe ezisinga, mulinga
abagenda ku mpewo n’ebiruubirirwa ebirumya sso ssi ebizimba.
Ebintu ebikulu bisatu buli agenda ku mpewo byasaanidde okukuumanga, eri abo
abalina omukisa ogugigendako kubanga ssi bonna. Okukuuma ekintu kwe kkukiwa
amakulu n’obulamu ate n’okukitambulirako okumala ekiseera kisobole okukukyusa
ggwe ng’omuntu oba ekitongole. Amateeka gano oba emitendera gino bangi
temugitwala nga nsonga era ssinga tebadde mbeera nze muli gyempulira weewaawo
mmwe gyemutamanyi ,era gyemutawulira,eky’amazima,naalibalemeddeko okuyita
mu mitendera gyonna. Nnaalibasabye okundiyirira olw’ebivve byemunsibyeko mu
bugenderevu n’ebirobooziroboozi ebijingirire mbu byange ate ne mubireka biyite ku
mpewo za Radio zammwe.

Amateeka agoogerwako ge gano, nga musobola n’okugeeyambisa mu kulungamya abasasi
b’amawulire gammwe n’abalungamya ba program, kibayambe okukolanga ebisaanira.
Okwanukula eri obubaka obw’obukyaayi Mwami Mirundi bwazze nga ayisa mumikutu gy’amawulire egy’enjawulo.

Erisookera ddala omuzungu lyayita ‘Attribution’
Omuntu ali ku mpewo bwabaako kyayogera ku mulala atali ku mpewo, Omulungamya
wa program kimukakatako okuyamba abawulirizaabe okwawula ekituufu ku kitali
kituufu ng’ayita mu kubuuza oyo abeera akyogedde mu ngeri esinga okubeera entuufu
era etaliiko ludda. Lwaki kino akikola, obubaka obw’engeri eno mmere eri obwongo
ng’abawuliriza basobolera ddala okuwaba nga beesigamye ku kye babeera bawulirizza,
kino kiyitibwa ‘Issue framing’’ mu by’empuliziganya, ekimanyiddwa nga ‘Okukikinika’’
nga ssinga ekyogerwa kiba tekikakasibwa, kiba tekisaana kuwulirwa mu bantu. Kino
kiba kiteekeddwa kuggyibwa mu bantu n’okwetonderwa omuntu oyo yeetonderwe
mu bwangu ennyo awatali na kulinda kalango k’eggyako byogeddwa. Kiteekeddwa
kweggyako mu bwangu olw’abeera akyogedde obutaba na mazima ku kyayogedde.Ne
weewuunya empewo bweyinza okuzannya eddoboozi ejjingirire erigambibwa okuba
eryange ate n’essikubirwa na ssimu kubuuzibwa oba nga ddala eddoboozi eryo lyange,
kizibu kya kuttottola. Kano kabeera kabonero ka butabeera na buvunanyizibwa omuntu okulungamya
oba okukubiriza ey’engeri ng’eno atenga kigubya n’erinnya oba ettutumu lya Radio
eyo. Abamu balowooza nti enkola eno kubeera kwegazanyiriza mu ddembe lya
bannamawuulire nga bweriwulirwa mu ggwanga lyaffe, ne beenyumiririza mu bungi
bwa Radio eziri mu ggwanga gyoli obungi bwazo busobola okudda mu bigere
by’omugaso gwazo n’omutindo, bino bya njawulo ddala. Kino nze nkirabira ddala
ng’ensobi etagenda kukomezebwa mangu ssinga bannansi ensonga eno tebagigonjoola
mangu nga tennasimba wano makanda. Obuteebuuza nnyo ku maloboozi ag’engeri eyo
agajingiriddwa okwefaananyiriza enjatula y’ebigambo mu nnimi ezimu egendereddwa
okugootaanya endowooza z’abantu, okwawulayawula mu bantu, n’okukyayisa
amawanga agamu, oba togubizza ba Ssaalumanya bokka wabula obeera olemereddwa
okutuukiriza obuvunanyizibwa bwo obw’obulungamya n’amazima mu buweereza eri
abantu b’amawanga agamu. Obutafaayo bwo ku kiki ekituufu kye waalibadde okola
ng’omuweereza wa Radio n’oleka abantu okwongera okusaasaanya obulimba, obeera
eggwanga eryo erisiigiddwa enziro olirese mu buzibu. Bwennawuliriza amaloboozi ago
amajingirire ne nzijukira nti kituufu ddala ebyafaayo byaffe wano tebyesigamizikako
bannansi kuyiga. Nkutte akatambi k’eddoboozi mungeri emu oba
endala ku lunaku olumu ku nkulu wano mu byafaayo. Ogw’omukaaga ng’ennaku z’omwezi 15th
omwaka 1891, omuzungu Capt. Fredrick Lugard eyali anoonya eby’obugagga eby’omu ttaka okuli
Gold, Diamond, amasanga n’okufuga ettundutundu eryo olw’ebiruubirirwa bya bakamaabe aba Imperial
British East African Company yasala Kazinga Channel akataka akali wakati w’ennyanja Mwitanzigye
(Albert) n’emanyiddwa nga George abalala gye bayita Masyoro oba Rweeru. Ono yalina basajjabe
abaamukwasizangako okuzinda ebyalo abaali eyo mu bikumi 200 omwalia Abasudan, Abazanzibar n’abamu
abataka mu kitundu abaamulaganga amakubo. Ono yatuukiriza bulungi ekiruubirirwakye n’awamba
eggye ly’Omukama Kabalega owa Bunyoro n’afuga Kazinga Channel n’ebirombe by’omunnyo ebiri mu kitundu ekimanyiddwa nga Katwe
abasuubuzi abaatambulanga engendo empanvu gyebaasibiranga.

Emyezi mitono nga kino tekinnabaawo, abamu ku bakulembeze mu Bwakabaka bwa
Buganda baali balabye ku Lugard mu Kampala, n’ayitako mu Buddu, n’afuna omu
ku balangira ba Toro amanyiddwa nga Kasagama gweyali ategese okweyambisa mu
kunafuya Kabalega ate n’ayanirizibwa ne mu Ankole gyeyakkiriza n’okutta omukago.
Mu kiseera ekitaawera na mwaka omugwira Lugard ataalina kyamanyi n’akatono ku bya
wano, ekitongolekye ne Britain byali bimalirizza okukwasibwa kyenkana Uganda yonna
ng’ayita mu lukujjukujju lweyalina, yagenda agaziwa mpola mpola nga yeeyambisa
obutakkanya bwaffe. Nga wayise emyaka ebiri Kabalega yagezaako okwagala
okusindiikiriza abawambi abaali bamuzinze ne bamufunza wabula olw’obutakwatagana
bulungi na bakulembeze banne n’enkolaye etaali nnambulukufu bulungi yalemererwa.
Mwanawattu baali tebasobola kuzza ku mabbali butakkanya bwabwe ne bakunga
abantu baabwe bonna balabe nga basindiikiriza eyalki agenda abazinda okuva
ebunaayira. Abasinga ku bakulembeze bano bakkanya mangu n’omugwira eyali
abazinze nga baagala okumwekwatako banyigirize baliraanwa baabwe bwe baali
basangiddwa n’okwerumaaluma, mwattu ne batalengerera wala kufiirizibwa Kunene
okwali kuboolekedde. Okugeza Kabalega bweyeerwanako ne
yeddiza Toro mu 1893 n’atuuka ne ku mugga Nile, n’ayita ne mu Busoga ku luuyi
lw’Obuvanjuba amale azingirize abazinzi mu makkati g’amaserengeta g’eggwanga,
mpaawo yavaayo kumukwasizaako era tewaali yagezaako kusindiikiriza Col
Colville omukulu gweyali atumye okuva e Sudan ne Zanzibar. Kyannaku nnyo nti
Kabalega oluvannyuma lw’okugezaako okusindiikiriza Lugard wabula ng’ali
yekka mpaawo amukwasizaako olw’okumulaba ng’omulabe, obuwanguzi
bweyali yeetaaga teyabutuusa.
Nga 2nd omwezi ogw’okusatu omwaka 1895, amagye ge bwegeesusunkulamu ne gaagala
okusinza abalumbi amanyi n’obukodyo ku Kazinga Kajumbera ku nnyanja Kyoga oba ku
mugga Kafu (Nkyebuuza ku bakulu mu Bunyoro bankakase ekifo ekituufu) Kabaleega
yasuula mu mazzi obwato bubiri ku bwato obutaano obwali busaabaza abalwanyi ba
Lugard okwali Mwami Dunning, Mwami Cunningham, Mwami Vandeleur ne Mwami
Ashburnham. Baalina abalwanyi kyenkana enkumi 2000 omwali Abaganda, abasudan,
abazanzibar n’abayindi abaalinga batunuzza emidumu gy’emmundu eruuyi lwa Kabalega
era abaalumya basajjabe okukamala. Abakulu okuli Dunning ne munne Cunningham
baalumizibwa byansusso era ebiwundu bye baafunira mu kulwanagana okwali ne bibatta
era Kabalega n’asindiikirizaako katono Omweru Lugard, kino tekyalabwa nga nsonga
era ba Jjajjaffe tebaafaayo kukwataganira wamu kusindiikiriza muntu oyo, baasigala mu
kwerumaaluma kwabwe nga bwewali luli.
Kyewunyisa nnyo nti abantu bano bonna abaalemererwa okwekwatira awamu babeeko
kyebatuukako ng’ab’oluganda ensibuko yaabwe yeemu, baava mu kwabulukukamu kwa
bwakabaka bwa Bacwezi mu 1500 kale ebyali bibaawula nga bitono nnyo. Obumu bwaffe
bwali bunywevu nnyo nga n’okulumbwa kw aba Luo abaava mu nsozi z’Ebunubbi ne
Sudan n’okwabulukukamu kw’obwakaba bwa Bacwezi, aba Luo-aba Bito baali tebalina
bwe baggyawo mbeera gye baasangawo era mwe baatambulira okusobola okufuna
ettutumu.

Kale leero bwendaba abasomyeko nga tebajjukira bulungi nneewuunya kubanga
emyaka 130 egiyise Lugard weyakolera bino migigi etaano butaano gyokka naye abantu
bwe baba nga baseesa mu njawukana muffe nga beeyambisa amaloboozi amajingirire
ate nammwe ne mugawa omwaganya ne gabamga agalaga empisa z’abantu, embeera
zaabwe n’ebokolwa number muko ne njagala okubajjukiza okuyigira ku byafaayo. Ka
bibabeerere abasomesa, tolwanyisa mugandawo kubanga bwokikola obeera owaako
balabebo mwaganya. Tebannakyusa empisa zaabwe wabula beefuula bwefuuzi
batufaanana Eno nga bwenanyumirwa okutuzannyirako. Ekyokulabirako amawanga
g’abeeru mango tegayinza kusanyukira kuseseetuka lwa Uganda waffe omukago
gw’amawanga g’Obuvanjuba bwayise Ssemazinga ono kubanga kino kibeera Kya
kubawa manyi n’eddoboozi ery’awamu.
Kale mu mbeera ezo mu ngeri zonna ze basinziirako okutukuumira mu kwerumaaluma
okutaggwa ate ne mu bintu ebitumbula empisa m’emizeezeze gyabwe ebitalina
webituweera myaganya gikubaganya birowoozo ku bituzimba. Bingi ebinyigiriza
bannalukalu lino tebabiweera ddala mikisa gibyogerako ka babeere bakulembeze be
baaliyagadde okubakulembera. Mu bulamu bwange nzizenga nneewala okuyingira mu
ntalo n’abantu kubanga nnyingi tezirina mirandira ate zennyamiza. O muntu asaanidde
abbinkane n’omulala balance oba balemagane mu ndowooza so ssi kusinziira ku wa
gyasibuka ob’emmere gyaba yalidde nga bwentera okuyigira mu program nammwe
ezisinga.

Okugeza mu 2015, bwenagezaako okwesimbawo, abamu kubakulembeze mu kibiina kya
NRM banzijaako eddembe lyange okwetaba mukalulu nga bekwasa ediini neggwanga
nga jooli ffe twesalirawo wa gyetulina okuzalibwa oba gyozaliddwa kitegeza nti totegera
oba otegera bulungi mubwongo, kyova olaba nagana okuteeka mumboozi ezekika nga
ekyo. Kino nakikola kubanga manyi bulungi kyetwetaga okugata eggwanga lyaffe.
Njize bingi okuva mubyafaayo omuli okusonyiwa okukola ennyo mubifo byonna
katonda byaba antaddemu. Ngamaliriza ensonga eno njagala awuliriza yefumitireze
kubigambo bino singa Kabalega yali awangudde ebikolobero byonna ebyabazungu nga
nabakulembeze benoono bonna bazze ku ludda lwe awatali njawukana zonna , olowooza
enteekateeka yokugata ensi yaffe yandibadde etya? Tetusobola kubyogera byonna
mubutufu bwabyo wabula tusobola okubyogerako okubitegera. China yali nafu nnyo
mubyamaggye ne tekinologiya wabula yasalawo okugata enoono zaayo zonna nabantu
era kino kyekibayambye okuberawo kati emyaka 100 newankubadde abazugu bagezaako
okuyingirira okutusa lweyerwanako nga October 1949. Newankubadde ntegeera bulungi
amawulire wamu nebikolwa byabazungu, ebyekwesanyusa namateeka bikyali bito nnto
ate bikola kyamanyi nnyo okukyusa embeera zabantu, bannamawulire nabakubiriza
pulogulamu zebyobufuuzi tebalina kyakwekwasa wabula bakole ekisoboka okulanga
eggwanga lyaffe likkula, linywevu. Abamu kubannaffe mumawulire bava gyebavudde
nebayingira butereevu amawulire kyova olaba tebafaayo kuyiga era yensonga lwaki
bakiriza abantu abalina obutambi obwobulimba okubuteeka kumpewo. Tusanidde
okukomya okulowolereza okumpi tusobole okuyimirira kuwlobulungi bwensi yaffe.
Nga bannamawulire, musanyenga okunonya amazima so si bulimba bwankukunala.
Obwenyamivu bwange buli nnyo kumpereeza eyebitege gyemuweerezamu nemwoonoona
nebyobufuuzi ebirungi eggwanga lyaffe lyebyetaga, mukutumbula nnyo amwulire
amakyamu nga tukola okusalawo wamu nokulemesa okulakulanya ebitundu byaffe.
Okuzimba gyetaga abantu okukolera awamu nga nolwekyo emikutu gyamawulire girikumwanjo okukola kino.

Content Document: